Abavubuka babiri basse ab'oluganda munaana nga babalanga kugaana kuyingira nzikiriza yaabwe
Abavubuka babiri bakakkanye ku b’oluganda munaana nebabatta nga babalanga kugaana kwegatta ku nzikiriza yaabwe mu ggombolola y’e Kyaterekera mu disitulikiti y’e Kagadi. Bano babadde baatandikawo enzikiriziza gyebatuuma God Holy Spirit Son Man - Ababiri bano abamagye gabasse oluvanyuma lw’okugezaako okub’enganga n’ebiso bwebabadde bagenzeeyo okubakwata.