Abavubuka e Rwampara beemulugunyizza olw’okugaanibwa okukyusa ebifo webalondera
Waliwo abavubuka abavuddeyo okwemulugunya olw’okugaanibwa okukyusa ebifo webalondera e Kinoni mu disitulikiti y’e Rwampara. Akulira eby’okulonda mu disitulikiti eno atubuulidde nga bano bwebalemereddwa okutuukiriza ebisanyizo ebibasabibwa okusobola okukyusa ekifo webalina okulondera mu nteekateeka y’okuzza obugya enkalala z’abalonzi okugenda mu maaso.