Abayizi ba siniya ey’okuna balambikiddwa eby’okugoberera nga bakola ebigezo
Olwaleero abayizi ba siniya ey’okuna babadde mukulambikibwa ku biki byebalina okugoberera nga bakola ebigezo byabwe ebyakamalirizo. Kinajjukirwa nti guno gwemulundi ogusoose okutuula ebigezo byakamalirizo mu nsoma empya kiyite New Curriculum. Abayizi batubuulidde nga bwebeetegese obulungi okuddamu ebinaaba bibabuziddwa okutandika ku balaza ejja.