Abazadde e Kiryandongo beemulugunya lwa masomero ga gav't kubasaba ssente
Abazadde mu disitulikiti y’e Kiryandongo balaajana olwa masomero ga gavumenti agali wansi w’omusingi gwa bona basome, okubasasuza ebisale by’essomero, ekintu gavumenti kyeyagaana. Bano bagamba kino tekitaliza masomero ga pulayimale ne siniya, nga beeralikirivu nti kino kyakuviirako okuwanduka kw’abaana mu masomero.