Akabenje e Nabweru; emmotoka ya Fuso eyingiridde Premio
Abatuuze b’e Katooke mu gombolola ye Nabweru baguddemu ekyekango Fuso ebadde etisse amanda bweremeredde omugoba waayo negwira emmotoka ekika kya Premio omubadde omusomesa ku ttendekero li International University of East African n’afiirawo n’ekwata n’omuliro. Era kabadde kasitaano mu kiro poliisi okuzikiriza omuliro obutasaasanira bintu byabadde biriranyewo.