Ba muzibe basabye bannayuganda okubadduukirira
Ba muzibe basabye bannayuganda okubadduukirira mu kaweefube gwebaliko ow’okugula emiggo gyebatambuza n’ekigendererwa eky’okuyamba abo abatagyirina. Bano bagamba baagala okudduukirira ba muzibe abasukka mu mutwalo omulamba okwetoolola eggwanga lyonna. Kati bategese emisinde mwebagenda okusondera ensimbi zino. Era minisita w’abaliko obulemu Hellen Grace Adamo ategeezeza nga ab’ekitongole ky’ebibalo mu ggwanga ki UBOS bwekyetonda olw’omuwendo gwabwe ogwafulumizibwa omukyamu nebasuubiza okutereeza.