E Bukomansimbi abadde akuluusanya abaana 2 akwatiddwa
Omusajja ku kyalo Lugando mu gombolola y’e Bukango e Bukomansimbi akwatiddwa kubigambibwa nti abadde akabasanya abaana ba mugandawe abawala.
Kigambibwa nti oluvanyuma lw’okufa kwa maama w’abaana bano kitaabwe yabawa muganda we omuto abamuyambeko akageri kaalina essomero.
Ekyennaku bano abandibadde abaana be ate abadde yabafuula bakyala be oluvanyuma lw’okubalimbalimba nti mu buwangwa balina kusooka kwagala yye nga tebannaba kutuuka kufumbirwa.