E Kikaya mu Bulenga, abatuuze bakyattunka lwa ba ssentebe babiri
N’okutuusa olunaku olwaleero abatuuze b’e Kikaaya - Bulenga mu disitulikiti y’e Wakaso bakyabulidwaako webaddukira olw’ekyalo okuba neba Ssentebe babiri ate nga bonna bayisa ebiragiro. Okusinziira ku batuuze, embeera eno yeeyongedde obumenyi bw’amateeka, nga kati ababbi tekyali abakuba ku mukono, olw’obutaba nabukulembeze bulambulukufu. Kati obuzibu babutadde ku RDC w’e Wakiso, okulemwa okusalawo omutuufu okukulembera ekyalo.