E Masindi tebalina bitanda kwe bazaalira
Ba maama abaliko obulemu e Masindi mu ddwaliro ekkulu basaba baduukirirwe n’ebitanda kwebazaalira.
Eddwaliro lino temubadde kitanda kyoka mukyala aliko bulemu kwasobola kuzaalira naddala abo abatambulira mu bugali.
Bbo abakulira eddwaliro lino bagamba tekisaana kukoma ku bitanda byokka naye ne kaabuyonjo zenyizi ez’abantu abaliko obulemu tebalina ekibakalubiriza nga bazze okufuna obujjanja.
Bishop Charlse Bagonza owa Pentacosto churches atonedde eddwaliro lino n’ekitanda ekizaalirwako abantu abaliko obulemu eky’omulembe.