E Mpenja, Gomba ettaka ekibira lisimiddwako omufulejje
Abatuuze ku byalo 4 mu ggombolola y’e Mpenja mu disitulikiti y’e Gomba bali mu bweraliikirivu oluvannyuma lw’omusuubuzi w’omu Kampala Sarah Birungi okugenda mu kitundu kyabwe n’asima omufulejje okwetoloola ebyalo byonna nti akooya abasaalimbira ku ttaka ly’ekibira kya gav’t kyagamba nti lyamuweebwa kitongole ki NFA. Kati abatuuze basobeddwa olw’okuba tebalina ngeri gyabasobola kufunamu mmere yabwe, kwe kwekubira enduulu eri RDC w’e Gomba Charles Lukubo Kyasanku naye asitukiddemu okujja okwetegereza ensonga zino.