E Mubende Abakulembeze batongozza ebizimbe 4 ku ssomero lya Rwegula Primary School
Abakulembeze ku disitulikiti y’e Mubende batongozza ebizimbe 4 nga byabibiina munaana ku somero lya Rwegula Primary School. Ebizimbe bino bimazewo obukadde bw’ensimbi 500 era nga omulimu gwawebwa ba kontulakita bataano. Omubaka wa pulezidenti m kitundu kino asabye akulira abakozi mu disitulikiti okulaba nga buli muntu eyakozesebwa asasulwa nga bwebakkiriziganyako.