E Ssembabule, abaana ababiri basangiddwa nga bafu
Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Kasaana mu gombolola y’e Mateete mu disitulikiti ye Sembabule bwebagudde ku mirambo gy’abaana babiri ababadde bamazze ebbanga nga baabula. Abaana bano, Andrew Jjunju ow’emyaka omukaaga yabula ku lwakubiri lwa sabiti ewedde sso nga Julius Asimwe ow’emyaka ebiri n’emyezi ebiri yali yamula nga 10 omwezi oguwedde. Kigambibwa nti abaali baawamba abaana bano, babadde basaba bazadde baabwe ssente nga kirowoozebwa nti bwebalemererwa kwekubatta emirambo gyabwe negyisuulibwa mu kaabuyonjo. Abantu munaana bebakwatiddwa ku ttemu lino.