Ekitongole ki KCCA kirabudde abantu ab'efunyiridde okubba ebyuma by'okunguudo
Ekitongole ki KCCA kirabudde abantu ab'efunyiridde okubba ebyuma by'okunguudo ekizibuwaliza abantu naddala abatambuza ebigere mu kibuga Kampala. Bino byogeddwa aba minisitule y’eby’enguudo bwebabadde bakwasa ekitongole ki KCCA oluguudo lw’omubbanga ku saawa ya Queen oluvanyuma lw’okumalirizibwa. Kizuuliddwa nga abantu balina okutendekebwa enkozesa y’enguudo mu kitundu kino nga kwotadde n’ab’ebigere.