Essomero li Bright Angels mu Mpigi liduukiriddwa n’ebikozesebwa
Essomero li Bright Angels P/S mu ggombolola y’e Kituntu e Buwama mu Mpigi liduukiriddwa n’ebikozesebwa eby’enjawulo oluvanyuma lw’enkuba okusuula ebibiina gyebuvuddeko n’okwonoona ebintu. Kati bano baweereddwa entebe abayizi kwebatuula, ebitanda ebisulwako n’ebirala.