Gav’t yeegattiddwako enzikiriza ez’enjawulo okulwana ku mwana ow’obulenzi atuukane n’ow’obuwala
Gav’t nga yeegattiddwako enzikiriza ez’enjawulo etandise ku kaweefube w’okulwana ku mwana ow’obulenzi atuukane n’omwana ow’obuwala okumwewaza okufuuka ekitagasa. Kino kivudde ku ssira eriteekebwa ku mwana ow’obuwala ate ow’obulenzi n’alekebwa emabega ekiviiriddeko ate abalenzi okukula omuwawa. Bino byanjuddwa minisita omubeezi ow’ensonga z’abaana n’abavubuka, Balaam Barugahara Ateenyi mu kujaguza olunaku lw’omwana omuwala.