Obulamu: ensawo y'omwana okumudda mu maaso w’omwana
Abakyala bangi balongoosebwa nga bazaala lwa buzibu bw’ensawo y'omwana okumudda mu maaso w’omwana. Ekizibu kino kituuka ku bangi kyokka olw’obutamanya n’okuzaalira mu bantu batali bakugu, abamu bawalirirza okusindika omwana ekireetera bangi okufiirwa abaana baabwe ate n’abalala okufiira mu sanya. Olwaleero, omusawo omukugu mu kuzaalisa agenda kutunnyonnyola ku kizibu kino na butya bw’oyinza okukikwatamu obutafuna mutawaana.