Okufa kwa Ssegirinya: Ababaka bagala gav't enoonyereze ekyali mu kkomera
Ababaka ba Palamenti baagala gavumenti etandike okunoonyereza ku kiki ekyatuuka ku mubaka Muhammad Segirinnya akaseera keyamala mu kkomera e Kitarya.
Okusinziira ku babaka, Sseggirinya okutandika okulwala yali mu kkomera, kyokka naalemwa okufuna okweyimirirwa newankubadde yali ategeezezza kkooti nti yali mulwadde.
Bino bibaddewo amangu ddala nga sipiika wa palamenti amaze okubika omubaka Segirinnya.