Okufa kwa Ssegirinya: Abakubi b'amasimu kubakubye wala
Olugendo lw’omubaka Muhammad Ssegirinya lwatandikira mu kukuba masimu ku Radio ne TV ez’enjawulo ekyamufuula ow’etutumu mu by’obufuzi.
Okusinziira ku bannakibiina ekigatta abakubi b’amasimu ki Media Callers’ Association bamutendereza okubeera eky’okulabirako ekirungi gyebali paka watuukidde okufa.