Peace Mutuzo ategeezeza nga gavumenti bwegenda okweyambisa abakulembeze b’ennono
Minisita w’eby’obuwangwa n’ennono Peace Mutuzo, ategeezeza nga gavumenti bwegenda okweyambisa abakulembeze b’ennono, okulabga nga wabaawo enkyukakyuka mu nneeyisa y’abannayuganda. Minisita agamba eby’obuwangwa bingi ensangi zino ebyetaaga okuddibizibwa, nga bizingamya eddembe ly’obuntu n’enkulakulana mu ggwanga, kati okutuukiriza kino gav’t egamba yakuyitira mu bakulembeze ab’ennono okulaba nga bidibizibwa. Gav’t etegese olukung’aana nga ennaku z’omwezi 16 ne 17 omwezi guno, bogerezeganye n’abakulembeze bano okusobola okwenyigira mu nteekateeka eno.