Ssegirinya afudde!! Abatuuze e Masaka bakyali mukusoberwa
Abatuuze ku kyalo Butale mu gombolola ya Nyendo - Mukungwe mu Kibuga Masaka n’okutuusa kati bakyali mukusoberwa oluvanyuma olw’okufa kw'omwana wabwe Muhammad Ssegirinya abadde omubaka akiikirira Kawempe North mu Kampala. Mu maka Ssegirinya gyazaalwa embeera ya kimpowooze wadde nga tewabadde kyamanyi kyetusanzeewo.