Omulamuzi wa kkooti enkulu alagidde Dr. Kizza Besigye addizibweyo Luzira
Omulamuzi wa kkooti enkulu alagidde Dr. Kizza Besigye addizibweyo mu kkomera e Luzira oluvanyuma lw’okukizuula nti embeera ye tetiisa nga bwekibadde kyogerwa. Ono ategeezeza nga bwajja okuwa ensala ye ku ky’okuyimbulwa kwa Dr. Besigye nga ennaku z’omwezi tezinnawera 25 omwezi guno. Wabula embeera ebadde yabunkenke nga Dr. Besigye aleetebwa mu kkooti eno.