Omusajja attiddwa mu ntiisa e Masaka
Poliisi mu Nyendo eriko abantu 6 beekutte mu kunoonyereza ku ttemu eryakoleddwa mu kiro ekyakeesezza olwaleero. Bano okukwatibwa, kyadiridde poliisi okuyitibwa okulaba omusajja eyattiddwa n’egya n’embwa yaayo ekoonga olussu okukkakkana nga eriko abantu beesibiddeko era nebakwatibwa. Ettemu lino libadde ku kyalo Kirinda mu division ya Nyendo- Mukungwe.