Omusomesa e Kamuli akwatiddwa lwa kutunuza mwana atanneetuuka mu mbuga ya sitaani
Poliisi e Kamuli eriko omusomesa gw’ekutte ku bigambibwa nti yatunuzza omwana atanneetuuka mu mbuga ya sitaani. Kigambibwa nti omusomesa ono Steven Kimpi ow’emyaka 39, alina oluganda ku muwala ono, era nga babadde babeera bonna ku nyumba z’essomero lya Nawansoso P/S.