Abakulu ku kakiiko k’ebyokulonda bawandiikidde poliisi nga baagala etandike okunonyereza ku bamu ku bavuganya ku bwa pulezidenti abagambibwa nti beeyambisa olulimi olwawula mu bantu, kko nokuyisa ebivvulu kyoka nga byonna bimenya mateeka.Akulira akakiiko k’ebyokulonda Simon Byabakama agambye nti bano kyebakola kyabulabe eri eggwanga, kale nga bakubanguyira okubakomako.Kyoka ono agaanye okubaako gw’asongako nti yatandise okumenya amateeka gano.
OKUJEEMERA AMATEEKA MU KAKUYEGE:Akakiiko k’ebyokulonda kalagidde poliisi enoonyereze
0 Min Read
Leave a review

Trending News
Recent Updates
No posts found