OKUWANGULA AKALULU: Aba NRM mu bitundu bya Luwero basisinkanye okutema empenda

Gladys Namyalo
1 Min Read

Banna NRM mu bendobendo lya Luwero baagala ekibiina kyaabwe amaanyi kigamalire nnyo mu bitundu oludda oluvuganya gy’erulina obuwagizi obw’amaanyi basobole okuwangula ebifo eby’awansi naddala ababaka ba Palamenti. Mu Luweero, mu kulonda okuwedde ebifo byonna eby’ababaka ba Parliament byawangula kibiina ki NUP ekiri ku ludda oluvuganya, kati bagamba nti NRM wano weyetaaga okussa amaanyi okulaba nga baddamu okuwangula ebifo ebyo. Bano babadde mu lukiiko olw’okutema empenda ku ngeri bwebagenda okuwangulamu akalulu ka 2026.

Share This Article
Leave a review

Leave a Review

Your email address will not be published. Required fields are marked *