Ababaka ku kakiiko bambalidde ssentebe waabwe okumubikkirira
Ababaka ba palamenti abatuula ku kakiiko ak'ebyokwerinda bataamidde ssentebe waabwe Wilson Kajwengye nga bamulumiriza okubikkirira okwebulankanya kw’adduumira amaggye g’eggwanga Gen. Muhoozi Kainerugaba gwebaludde nga balinda okweyolekako gyebali.Bano okutaama, kiddiridde ssentebe ono okutegeeza ababaka nti yafunye akasimu okuva ewa spiika wa palamenti nga amutegeeza nga Gen. Muhoozi bwatajja kulabikako mu kakiiko kano ababaka kyebagamba kuno kubayisaamu maaso okutagambika.