“Abadde Tatwerabiranga”Ab’e kaddugala bakungubagidde Ssegirinya
Abatuuze ku kyalo Butale e Kadduggala mu Kibuga Masaka nabo bakyali mu kikangabwa oluvannyuma lw'okufa kw'omwana waabwe Muhammad Ssegirinya ng'ono abadde mubaka akiikirira Kawempe North mu Kampala.Tutuuseeko mu Maka Ssegirinya gy'azaalwa wabula nga embeera ya kimpoowooze nga tewali kukungubaga kwonna kugenda mu maaso.