Abakugu bagamba obulwadde bw’ensimbu bweyongedde e Buyikwe
Aby’ebyobulamu mu disitukikiti ye Buyikwe beeraliikirivu olw’omuwendo gw’abalwadde b’ensimbu ogweyongera naddala mu baana abato.Abasawo bagamba nti obulwadde buno okusinga bukosa nnyo abaana abazaalibwa nga bakooye ekibaviirako okufuna omusujja gw’okubwongo.Tukitegedde nti omwaka oguwedde gwokka,disitrict yafuna abalwadde b’ensimbu 1829.