E Nakaseke ab’oludda oluvuganya bambalidde aba NRM
Wabaddewo katemba e Butakangu mu district y’e Nakaseke ministry y’ebyoulamu bweyabadde etikkira abasawo b’okumiruka abayitibwa Community Health Extension Workers abagenda okuyamba ku kutuusa obuweereza bw’eby’obulamu ebisookerwako ku byalo. Kyavudde ku mukolo guno okugufuula akadaala k’eby’obufuzi nga kumpi buli obwedda akwata akazindaalo akuutira NRM kadingidi n’okusaba abasawo bano okuwagira President Museveni nti kubanga yabatuusizza ku ly’engedde ng’abawa emirimu.Kyoka ab’oludda oluvuganya baabisabulude.