Ebyakolebwa mu NAM: Laba embeera mwe biri oluvannyuma lw’omwaka mulamba
Ekitongole ki KCCA kitubuulidde nti tekirina nsimbi za kulabirira kko n'okufukirira ebimuli ebyasimbwa ku nguudo za kampala nga uganda yetegekera olukungana tabamawanga olwa Non Aligned Movement omwaka oguwedde, ekireetedde ebimu okutandika okukala.Batubuulidde nti newankubadde basanyufu olw'enguudo emyala n'ebitaala by'okunguudo ebyakolebwa mu kadde ako, bakyasanga okusomoozebwa mu kulabirira ebimuli n'emiti egyaasimbwa.Basuubira nti akadde konna baakufuna ensimbi ezinaabirabirira.