Ekifo kya Kawempe North abakyesunga bawera, abalonzi boogedde bye baagala
Nga Banna Kawempe North balindirira ddi akakiiko k'ebyokulonda lwekanatekateeka akalulu k'okujjuza ekifo omwali omubaka Muhammad Ssegirinya , ebbugumu mu beesunga ekifo kino lyeyongedde era nga buli omu awera okutwala Kawempe North mu maaso.Bbo abalonzi bagamba ssibaakulonda muntu mulala yenna okujjako oyo gwebalaba nga y'anaatwala omukululo gwa Ssegirinya mu maaso.