Emisango gya Ssemuju ne banne bagigobye, tegiriiko bujulizi bumala
Emisango egyali gyaggulwa ku banna FDC abaakwatibwa nga beekalakasa olw'engeri bannaabwe gyebaakwatibamu mu ggwanga lya Kenya gigobeddwa, kkooti egigobye oluvanyuma lw'oludda oluwaabi okulemererwa okuleeta obujjulizi.Mu babadde bavunaanibwa kwekuli omubaka Ibrahim Ssemujju Nganda kwossa omumyuka wa Loodi Meeya, Doreen Nyanjura, era nga baali baggulwako gwa kweyisa ng'ekitagasa.