Enguudo empya mu kibuga:Olwa Kampala fly over lukwasiddwa KCCA
Kampala Capital City Authority, KCCA, esabiddwa okunyweza amateeka agafuga ebidduka ku nguudo z'omukibuga Kampala, enguudo empya ez'omulembe ezikolebwa mu kibuga bweziba zakweyambisibwa bulungi.Kino, kivudde ku batembeeyi okutandika okutundira emmaali yaabwe wansi w'olutindo lwa ssaawa ya Queen awamu ne ku bibangirizi abatambuza ebiggere webalina okuyita, gattako n'abagoba ba bodaboda abaziimula ebitaala byokunguudo ekiretawo akalipagano k'ebidduka.Okuwabula kuno kukoleddwa minisitule y’ebyentambula bwebadde ekwasa Kcca Oluguudo lwa saawa ya Queen n'endala ezizimbiddwa ekitongole ki JICA.