EZA NETBALL NATIONAL CUP:She Cranes etandise okwetegeka
Ng'ebula ennaku mbale empaka za Netball Nations Cup zigyibweko akawuuwo mu ggwanga lya Bungereza, ttiimu ya Uganda ey'okubaka the She Cranes ennyikizza okutendekebwa ku kisaawe ky'omunda e Lugogo. Empaka zino zakwetabwamu amawanga omuli Bungereza, South Africa ne Malawi nga zakubeerayo nga February 1-9. Abazannyi betwogeddeko nabo batubuulidde nti tebali ku bunkenke wadde ng'abatendesi tebannaba kulondamu bazannyi ba nkomeledde be bagenda okuzannyisa mu mpaka zino.