Gertrude Kabaseke amaze emyaka 4 mu nsonga z’abakyala
Waliwo omukyala wa myaka 46 amaze ebbanga lya myaka 4 nga tava mu nsonga z’abakyala ky’oyinza okuyita ekikulukuto ky’omusaayi. Embeera eno emumazeeko emirembe oluvannyuma lw’okugezako obujjanjabi obw’enjawulo ne bigaana era kati takyasobola na kwekolera. Bba kyamusukkako n’amwabulira n’awasa omukyala omulala.Abakugu mu ndwadde z’abakyala batunnyonnyodde kwe kiva n’engeri omukyala ono gy’ayinza okuyambibwamu.