KASASIRO E Mityana:Abaayo beemulugunya ku w’e Kampala ayiibwa ewaabwe
Abatuuze ku kyalo Namukozi mu Central Division mu municipaali ye Mityana balaajana lwa kivundu kyebagamba nti kiva mu kasasiro ayiibwa mu kitundu kyabwe.Bano bagamba nti nga ogyeko kasasiro ava e Mityana waliwo emmotoka eziva e kampala neziyiwa kasasiro mu kitundu kino.Abakulembeze basuubizza okulaba mu nsinga eno.