Muhammad Ssegirinya wakuziikibwaa ku Sande e Masaka
Omubaka wa Kawempe North Muhammed Ssegrinya wakuziikibwa ku Sunday ya wiiki eno ku bijja bya ba jjajaabe mu disitulikiti ye Masaka. Kirangiddwa mu butongole nti Sssegirinya afudde mu ttuntu lya leero era nga abakulu ku ddwaliro e Lubaga gy'abadde ajjanjabibwa be bakibotodde.Wasoose kubaawo kukuubagana mu mawulire g'okufa kw'omukulu ono, nga abakulu ate basoose kw'ekyusa nebalangirira nti alina bitundu bya munda ebitakola naye nga ye yabadde akyali mulamu.