Nabbanja asisinkanye aba kkampuni ya Jospong
Ssabamninisita Robinah Nabbanja alagidde ministule y'ebyensimbi okwekenenya okusaba kwa bamusiga nsimbi okuva mu mawanga ag'enjawulo abazze balaga obwetaavu bw'okuteeka ensimbi mu kukung'anya n'okulongoosa kasasiro mu kampala.
Okusalawo bwati kiddiridde kampuni ya JOSPONG emu ku zibadde zegwanyiza omulimu okutegeeza nga bweyagala gavumenti ebeeko ensimbi zegiwa okugiyambako mu kutuukiriza obuvunanyizibwa buno.Kati Nabbanja agamba nti buli kampuni eyalaga obwetaavu eddemu yetegerezebwe,enaasinga yeeba eweebwa kontulakiti eno.