OKUFA KWA SSEGIRINYA: Babaka banne bamukungubagidde
Sipiika wa Palamenti Anita Among akakiddwa okutaataganya olutuula lwa palamenti olunaku olwaleero n'abikira ababaka mu butongole okufa kwa munnaabwe Muhammed Ssegirinya afiiridde mu ddwaliro e Lubaga emisana ga Leero.Ababaka banne awatali kweyawulamu bamwogeddeko ng'omuntu abadde omukozi era ayagaliza abalala, naddala abo abali mu bwetaavu.