OKUKOLA KU B’E KITEEZI :Ababaka baagala KCCA eweebwe obuwumbi 108
Ababaka ba palamenti ku kakiiko akalondoola ensonga z’amaka gw’obwa pulezidenti baagala ensimbi obuwumbi 108 ziweebwe ekitongole ki KCCA mu mwaka gw’ebyensimbi 2025/2026 ziyambeko okukola ku nsonga za kasasiro mu Kampala.
Baagala ensimbi zino zeyambisibwe mu kugula ettaka e Buyala KCCA wenaayiwanga kasasiro saako n’okuliyirira abantu abaafiirwa ebyabwe mu njega eyagwa e Kiteezi.
Bino babyogeredde mu kakiiko ka palamenti ak’embalirira agenda okugatta ebinaaba bivudde mu bukiiko bwa palamenti obw'enjawulo okukola embalirira y’enkomeredde.