Okukungubagira Ssegirinya:Ab’e Kawempe bamwogeddeko birungi
Abakungubazi ku kyalo Bulamu Deputy ekisangibwa mu town council ye Kasangati bakedde kweyiwa mu maka g'omugenzi Muhammad Ssegirinya oluvannyuma lw'okuwulira amawulire g'okufa kwe. Newankubadde amaka g'omubaka gabadde maggale, bano baweze obutavaawo okutuusa nga omubiri gwe guleeteddwa nabo basobole okugukubako eriiso evannyuma. Bano bagamba newankubadde abadde musenze mupya ku kitundu, abadde yabasuubiza okubakolera enguudo na ddala ekkubo eridda mu makaage.