OKUKYALA KWA MUSEVENI E BUSOGA:Abaayo bamusabye akole ku bye yabasuubiza ebitannatuukirira
Nga omukulembeze w’eggwanga ateekateeka okukyalako mu disitulikiti ye Namutumba okulambula enkola ya Parish Development Model, bbo abatuuze baayo baagala afiseewo akadde ayogere ku bisuubizo byazze akola gyebali kyokka nebitatuukirizbwa. Bano bagamba nt okuva mu 2016 pulezidenti azze abasuubiza okubakolera entindo, enguudo kko n’ebirara, kyoka nakati alinga atakyabijjukira. Baagala bwanaaba akyadde mu kitundu kino, ebisuubizo byeyakola abyogereko.