OKUYIGULUKUKA KW’ETTAKA E BULAMBULI :Abaasimatuka nakati tebanafuna bibanja
Abatuuze abaasimattuka okuyigulukuka kw’ettaka e Bulambuli,mu kaseera kano nga bawangaalira mu nkambi e Bunambutye bagamba nti gavumenti ekandaaliriridde mu ky’okubawa ettaka ew’okusengukira nga bweyabasuubiza.Bagamba nti bawangadde mu nkambi eno okuva mu November w’omwaka oguwedde nga basuubira nti gavumenti ekola ku nsonga zaabwe,kyokka nakati tebalaba kikolebwa.Beeraliikirivu ku by’enjigiriza by’abaana baabwe, naddala mu kaseera kano ng’olusoma olusooka lusemberedde okutandika.