"TEMUTYA KUKOLA MIRIMU GYAMWE" Ssaabalamuzi Owiny-dollo agumizza ab’amawulire
Ssaabalamuzi Alfonce Chigamoy Owiny-Dollo akuutidde ebitongole by'amawulire obutakkiriza kutiisibwatiisibwa abantu b'ayise abanene. Ono abadde ayogerera mu lukunngaana olutegekeddwa olupapula lwa Daily Monitor okukubaganya ebirowoozo ku mugaso gw'olupapula luno mu kukulaakulanya eggwanga. Ye Minisita w'ebyamawulire n'okulunngamya eggwanga Chris Baryomunsi ategeezezza nga gavumenti bw'eyagala ab'amawulire okukola ogwabwe n'obwenkanya ate manger ey’obwesimbu.