UPC etandise okwetegekera akalulu ka 2026, Akena waakwesimbawo
Pulezidenti wa UPC Jimmy Akena ategezeza nga bwagenda okwesimbawo ku kifo ky'omukulembeze w'eggwanga mu kalulu ka 2026. Olwaleero Akena ayanjudde enteekateeka z'ekibiina okwetaba mu kalulu akajja nga ku mulundi guno baluubirira okwongera ku muwendo gw'ababaka mu palamenti. Ono akunze bannakibiina okwesimbawo ku bifo by'obukulembeze.