Ab’oludda oluvuganya embeera ya Besigye bagikwasizza Katonda
Abakulembeze okuva mu bibiina eby'enjawulo ebivuganya gavumenti baakukolaganira wamu okulwanirira okuletawo enkyukakyuka mu bukulembeze bw'eggwanga. Bano okweyama bati, babadde mu kusabira Dr Kizza Besigye omukama amugumye gyali nga babadde ku kitebe kya NUP e Makerere-Kavule. Ebyokwerinda bibadde bikwafu okwetoloola ekitebe kyonna, era nga waliwo n'abantu abagombeddwamu obwala mu ngeri etategeerekese.