Aba kiraabu ya Amus bawangudde mu mupiira gw’abakyala
Farida Bulega, omutendesi wa kkiraabu ya Amus College Women football club y’awereddwa engule y’omutendesi asinze ey’omwezi olw’omutindo kkiraabu ye eya Amus gweyayolesa omwezi oguwedde mu liigi y’abakyala abazannya omupiira gw’ebigere, FUFA Women Super League. Ono alondeddwa n’omuzannyi we Esther Namataaka era ne baweebwa emitwalo 50 buli omu okuva mu bavujjirizi ba liigi eno. Bano emipiira gy’abwe etaano agisembyeyo tebakubiddwamu era mu kiseera kino batudde mu kifo kya kusatu nga Kawempe ekulembedde ebasinga obubonero busatu bwokka.