Aba NRM bakubaganye empawa ku by’okugenda mu kkooti ku buwanguzi bwa Nalukoola
Abamu ku babaka ba palamenti okuva mu kibiina ki NRM bawagidde ekyasaliddwawo abakulembeze b’okuntiko okugenda mu kkooti okuwakanya ebyava mu kalulu k’okujjuza ekifo ky’omubaka wa Kawempe North.Munnakibiina kya NUP Erias Nalukoola,yeyawuuta akalulu kano wabula NRM neyeekwasa nti kaali kajjuddemu vulugu. Kyokka waliwo bannakibiina ki NRM abawadde ekibiina amagezi okulinda akalulu akaddako kano bakesonyiwe basooke beetereze bbo ng'ekibiina bamanye bwebayinza okussagula obuwagizi.