Aba NRM basimbidde ebbago ly’omubaka Lumu ekkuuli
Ekibiina ekiri mu buyinza ki NRM tekyawuukanye ku bibiina ebiri ku ludda oluvuganya, naky obwekivuddeyo nekimetta ettoomi ebbago ly'omubaka wa Mityana South Richard Lumu ly'ayagala okuleeta nga akulira oludda oluvuganya alina okukubwako akalulu.
Aba NRM ababadde balabiseeko mu maaso g'akakiiko ka palamenti ak'eby'amateeka okuwa endowooza zaabwe ku tteeka lino, bagambye nti kino kigenda kuba kitattanya demokulasiya bbo nga NRM gwe bakkiririzaamu.
Bano babadde bakulembeddwamu akulira eby'amateeka mu kibiina Enoch Barata.
N'aba NUP nabo olwaleero lwe bawadde ebirowoozo byabwe ku tteeka lino.