Abasuubuzi mu paaka ye Ntebe bakukkulumidde abakulembeze
Olwaleero munisipaali y’e Ntebe etongozza paaka y’e mmotoka e mpya mu Kitooro erudde nga edaabiriza okuva mu mwaka 2017 ku nsimbi za uganda obuwumbi 10.
Kyoka abasuubizi abaali bakolera mu kifo kino bataamidde abakulu ku minisipaali nga bagamba nti beegabira emidaala gyonna egyiri mu paaka eno, olwo bbo abaali bakolerayo nebalekebwa ebweru.
Abatwala munisipaali bino babyegaanye.